Psalms 34

Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.

1 aNnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 bOmwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 cKale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.

4 dNanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 eAbamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 fMalayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.

8 gMulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 hMusseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 iEmpologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 jMujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 kOyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 lOlulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 mLekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.

15 nAmaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 o Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17 pAbatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 q Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 rOmuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20 sAmagumba ge gonna Mukama agakuuma,
ne watabaawo na limu limenyeka.

21 tEkibi kiritta abakola ebibi,
n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 u Mukama anunula abaweereza be;
so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.
Copyright information for LugEEEE